Nkolera Mu Kkubo
Geofrey Ndhogezi · 30 November 2021
Mpaawo atamanyi mulimu gwenkola. Nkolera mu lujjudde. Sseekwekelera. Buli gwensisinkana ayanguyilwa okukolagana nange. Byenkola byettanilwa, n'engeri gyembikolamu y'eyo yenyini gyebaagalira ddala. Bwemba mpitaayita, ne balyoka bampita nti "gwe boda!"
Olwo nemmagaamaga okulaba oyo ankowoola, era ngenda okulaba nga ye wuuyo awanise omukono. Batera okusonga akagalo okunteegeeza gyebalaga, era ssibayiwa. Mbatwala gyebaagala kasita tukkaanya. Era mbayita basaabaze bange; mwattu nsanyuka nnyo nga basasulidde olugendo lwabwe. Olwo ne neenyumiriza mu mulimu gw'okusomba abasaabaze ku pikipiki. Ebbula ly'emilimu nalituula ku nfeete.
Omulimu gwenkola gwa ttunzi. Abagukola nkumu kubanga n'abettanira obuweereza bwaffe nabo nfaafa. Okutwaliza awamu egwanga lifunyemu byansusso.
Naye wadde guli bwe gutyo, banaffe betuweereza balemereddwa okulaba wetugasiza ate nga be bamu abatutuma wano ne wali nga bali mu kafubo k'okutuukiriza ebigendelerwa byabwe. Ne bwe balaba nga tuweereza buteddiza, era tukola bagaya.
Nebalyoka batukonjera. Nebajweteka. Buli ekitabangula eggwanga nebakitusibako. N'okudobonkana kw'amakubo bakusiba ku ffe. Nabuli alemereddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe anoonya weyeekwasiza aba bodaboda. Kyetwaaba kikulu. Kituleetedde n'okulabwa ng'ekyonziira. Sso nga bweweetegereza ekitwawula ku balala olaba nga kitono: kukolera mu kkubo.
Aba bodaboda twaza gwakyi?
Tukolera mu lujjudde lw'abantu buli omu w'atulabira, era w'asobolera okumanya enkola y'emirimu gyaffe n'okuwa endowooza zaabwe ku buli ekitutuukako, ne bwebaba nga tebabitegedde bulungi. Olwo ne babunyisa enjogera etutyoboola ffe, wamu n'omulimu gwaffe. Ate nga tebasobola kwewala buweereza bwaffe.
Ebimu ku bitugumya netusigala nga buli lunaku tukeela netukola, wakati mu kukonjerwa okungi, kwe kulaba banaffe nga bongera kutwettanira buli lukya, okwo kw'ogatta n'akakisa ketulina ak'okumanya emize, n'ebikolwa by'abo abatwogelera obubi. Ebyo ebibiri bituleetera okunywelera ku mulimu gwaffe, netuguma wakati mu kusoomozebwa okwa buli lukedde.
Abatali ba bodaboda baagala ki?
Banaffe kyebaagala kibuzaabuza. Gwosang'ayogera nti, "aba bodaboda baatutama!", enkeela omusang'agula pikipiki nga bwakkaatiliza mbu, "ngenda kugula eziwerako nziwe aba bodaboda bampengayo mutwalo-mutwalo buli lunaku."
Gwosang'ayogera nti, "aba bodaboda basusse okuleeta obubenje!", y'omu y'agamba owa bodaboda mbu, "yongezaamu ku sipiidi sirina budde!" Ow'engeri eyo ne ku bitaala tayagala tuyimilire.
N’oyo ateeseza mu lukiiko ng’agamba nti, "tuteeketeeke ekifo kino mu ngeri elemesa aba bodaboda okuyingira", y’omu y’agamba owa bodaboda mbu, "awo ku geeti yitawo, ontuusize ddala munda." Sso nga ku geeti kubeerako akapande akagamba nti, "owa bodaboda tasukka wano." Bw’omubuuza nti, “gwe akampande tokalaba?”, ng’akuddamu mbu, "nze maneja wa wano." Ekitegeeza nti yeewadde olukusa olw’okweyisa mu ngeri ekontana n’ebyo ebyatesebwa mu nkiiko zaabwe. Kyokka ab’engeri eyo era be bagamba mbu aba bodaboda ba mputtu.
Bwetugelageranya byeboogera nga batukonjera, n'ebyo byebakola nga tubaweereza, wama netulabira ddala nti bannanfuusi lukulwe. Olwokuba bbo tebakolera mu kkubo, emize gyabwe egimu bafuba okujikweka.
Naye wadde bakukuta, ffe tumanya ebimu ku byebakola, kubanga tubaweereza. Omusaabaze bwe mmutuusa gy'alaga, mmanya ebikolebwayo. Bw'antikka ebiteleke n'andagilira gyembitwala, mmanya amakulu agali mu bintu by'antisse. Awo wetulabira nti mu betuweereza mulimu ababbi, abenzi, abakumpanya, abanyazi, abalogo, abalyazaamanyi, abafere, abatemu, n'abemize emilala.
Abantu abo olumu babeera ba ttutumu. Kyova olaba nga bwebagamba mbu “aba bodaboda babi”, naffe twebuuza nti, "omulungi y'ani?" Netusigala nga tukola nga bulijjo.
Tukole tutya okuteleeza ebyasoba?
Olugendo olw'okuteleeza ebyasoba luwanvu ate tetusaanidde kulukwaata mu ngeri ya kupapa. Kubanga ebyasoba bizze byeyongerako mpolampola, n'okubijjawo tulina kubikwaata mpola n'obwegendereza.
Okweyambisa enteekateeka z’ebyuma bya kalimagezi kisobola okutuyambako naye tekimala. Nze nga bwendaba, jetukomye okufuna kalimagezi era jetukomye n’okuggwaamu obuguminkiriza. Ate nga obutaguminkiriza y’ensibuko y’obubenje n’ebikolwa byonna eby’effujjo ebilabikira mu makubo.
Ebikolwa ebyo tebikolebwa ba bodaboda bokka, era bwetuba tubilwanyisa tetuteekwa kutunuulira ba bodaboda bokka.
Okweyambisa amateeka kikulu nnyo naye tekituyambye kubanga, wadde abamenyi b’amateeka baweebwa ebibonerezo buli lunaku, effujjo ne wasiwasi byeyongera bweyongezi.
N’olwekyo, tusaanidde tusooke tukkirize fenna nti eggwanga lyonna libuutikiddwa obusiiwuufu bw’empisa obuleetedde buli omu okweefaako yekka, n’abalina ku maanyi okunyigiriza abalala akagenderere. Sso nga, be bandikulembedde mu kafubo k’okuteleeza ebyasoba, nebabeera ekyokulabirako.
Bweweetegereza ebikolwa by’abantu abasinga obungi, n’enjogera yaabwe, olaba nti beeyisa mu ngeri ewagira obusiiwuufu bw’empisa. Okupapa, obulyake, ejjoogo, ettima, n’ebiri ng’ebyo. Kyova olaba ng’abakola ebitasaana babayita bagezi mu ngeri ey’okusaagilira. Ate abakola nga beegendereza, neboolesa obukkakamu n’obuntubulamu nga bavuga, ensi eno eyawuba ebayita ba “fala” mu ngeri ey’okujeregelera. Olwo abantu bonna nebakoppa ebitasaana, nebadibya enkola ey’ekitiibwa.
Kale nno, mu kaweefube w’okulungamya eggwanga n’okugonjoola obubenje, tusaanidde tukulembeze enteekateeka ewagira obuntubulamu n’empisa. Olwo twongelezeeko amateeka ne kalimagezi. Enteekateeka eno bweba enaakola, esaanidde essibwemu ekitiibwa abantu bonna. N’amakubo gonna gakolebwe mu ngeri elambika envuga ey’obugunjufu. Nabuli akwatibwaako ensonga z’amakubo atuukirize obuvunanyizibwa bwe. Awo naffe aba bodaboda tunaasobola okuddila empisa zaffe netuzisiiga akazigo.